Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

LC3 Chairman akunze abatuuze nebookya ekibira e Mubende

July 24, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Mubende ekutte Chairman wa LC3 ow’e Ggombolola y’e Butoloogo lwakukuma mu bantu omuliro okwokya ekibira kya Gavumenti eky’e Mpinze ekisangibwa mu Ggombolola y’e Butoloogo.

Reuben Mutabaazi kigambibwa nti yakunze abatuuze okukwekalakaasa nga bawakanya ekiteeso ky’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA) okukiwa omuntu omulala amanyiddwa nga Awomugisha Emma asimbemu emiti.

Kigambibwa nti Mutabaazi efunda eziwerako abadde nga asaba ekitongole kino kimuwe olukusa okusimba emiti mu kibira kino wabula nga amibwa olukusa.