Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 438 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Laddu ekubye babiri e rakai omu mufu omulala ataawa

January 20, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Nnyiriri mu muluka gw’e Kasensero mu Gombolola Lwanda mu Disitulikiti ye Rakai baguddemu eky’ekango oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okukubwa laddu n’afiirawo.
Living Stone Mwanje 34 ng’ono y’abadde akulira eby’okwerinda ku kyalo y’akubiddwa laddu gw’esanze mu kiyungu ng’alimu ne mwannyina Jalia Nabulya. Bano bombi babadde mu kiyungu nga bookya Kasooli laddu gy’ebasanze Mwanje n’emuttirawo ate ye Jalia naddusibwa mu ddwaliro e Rakai nga taasulewo yaali ku mimwa gy’abantu.