Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 726 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kyetaagisa amatendekero aga waggulu okussa essira ku masomo ga ssaayansi – Minisita Janet Museveni

February 18, 2018 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n'emizannyo mu ggwanga,  Janet Kataha Museveni agamba nti kyetaagisa amatendekero aga waggulu mu ggwanga okussa ennyo essira ku nsonga y'amasomo ga Ssayansi nga lino kkubo lya kuyiiya nnyo eriyinza okujuna Yuganda okukulaakulana n'etuuka n'amawanga amalala agayise mu kuyiiya. 

Kataha obubaka yabuweerezza  ku mukolo ogw'okusiibula abayizi mu Ssettendekero wa Kisubi – Kisubi Brothers University era nga bwaleeteddwa Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu matendekero aga waggulu,  Dr. John  Chrizestome Muyingo  .

Chancellor w'ettendekero lino,  Brother Peter Kazzekulya yasabye bonna abakwasiddwa amabaluwa okulowooza ennyo ku nneeyiisa yaabwe kubaga bazzeeyo mu bantu era buli muntu alindiridde okulaba n'okutegeera oba nga okuyigirizibwa kwabwe buli omu  kulina kyekumukyusizzaako.