Kyaddaaki YMCA Mukono egguddwawo

Kyaddaki ettendekero lya YMCA Mukono campus liggudde oluvannyuma lw’okumala ebbanga lya wiiki ssatu nga liggaddwa akakiiko akafuzi ak’ettendekero lino.

Essomero lino okuggalwa kyaddirira abayizi okwegugunga nga bawakanya eky’okulya obubi, obutaba na mazzi, amasannyalaze, awamu n’obutasoma.

Abayizi bano baatuka n’okugenda ew’omubaka akiikirira ekibuga Mukono mu Palamenti Betty Nambooze Bakireke abayambe.

Radio Simba eyogeddeko ne Principal w’ettenddekero lino Charles Kasajja Mukasa n’ategEeza nga bwebAatudde n’abayizi ensonga ne bazigonjoola.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
sipiika wa palamenti atwaliddwa mu ddwaliro