Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 459 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Kyaddaaki Molly Katanga aleeteddwa mu Kkooti

January 24, 2024 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti ya Nakawa Elias Kakooza enkya yaleero agaanye nnamwandu wa Henry Katanga, Molly Katanga okubaako kyayogera ku musango ogumusomeddwa ogwokutta bba nga 21-November-2023 nategeeza nti guno gwa nnaggomola ogulina okuwulirwa Kkooti Enkulu yokka.
Molly aleeteddwa emotoka ya Uganda Police Force okuva mu Ddwaliro lya IHK oluvannyuma lwa DPP okuvaayo ku bbalaza neyemulugunya ku Katanga olwobutalabikako mu Kkooti emirundi gyonna gyayitiddwa.
Molly asindikiddwa ku Kkooti Enkulu atandike okuvunaanibwa ogwobutemu nga oludda oluwaabi lwesigamye ku bujulizi obuli mu alipoota y’abakugu eyalaze nti ono yasangibwa n’obuganga bw’amasasi ku mikono gye
Kkooti ebutikiddwa emiranga okuva mu b’oluganda lwe ono bwabadde ayingizibwa mu Kkooti e Nakawa mu kaggaali k’abalwadde.