KUSAASIRA WALINYIRIRA EDDEMBE LYA AIGP KASINGYE – Twine Charles

Pinterest LinkedIn Tumblr +

WALINYIRIRA EDDEMBE LYA AIGP KASINGYE; Omwogezi w’ekitongole ekikola okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID ekya Uganda Police Force Charles Twine avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte Kusaasira Daniel 26, nga mutuuze w’e Mityana nga ono avunaanibwa kusaasanya mawulire gabulimba ku AIGP Asan Kasingye ku mukutu gwa Facebook app ku mukutu ggwe ogwa Daniel the Blogger bweyavaayo nateekako omutwe ogugamba nti ‘How Poison was Transferred’ ekivvuunulwa nti; Engeri obutwa gyebwatambuzibwamu oluvannyuma nagoberezaako ebifaananyi bya AIGP Kasingye nga ali n’omugenzi Bishop John Baptist Kaggwa ebyatambuzibwa mbu nebitaataganya eddembe lya AIGP Kasingye. Ono yakwatibwa mu kiro nga 13-March-2021 okuva mu maka ga Maama we ku kyalo Katovu Piida LC1 Mityana Municipality.

Share.

Leave A Reply