Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ku Lohana tetusosola bayizi – Ssomero

September 8, 2019 · Mubiru Ali

Essomero lya Lohana Academy livuddeyo nerisambajja ebbaluwa ebadde etambula ku mikutu gya ‘Social Media’ nga yawandiikiddwa Tisha agamba nti muyizi ku ssomero lino nga yekubira enduulu ayagala bayambibwe. Tisha agamba nti ayagala nnyo essomero lye kuba lisomesa bulungi nti naye ekimutamye kwekusosolebwa nga Bannayuganda. Agamba nti abayizi Abayindi babatitiibya nnyo nga babawa emmere eyidde obulungi bbo ne babawa etayidde, tebabakiriza kwetikka byakulya so nga banaabwe Abayindi babakiriza, bwebazza emisango bakubwa nga eky’okuttale so nga banaabwe Abayindi boogerako nabo nekiggwa. Wabula abakulira Lohana bagamba nti tebalina muyizi amanyiddwa nga Tisha, balina abayizi 1497 nga ebitundu 97 ku kikumi Bannayuganda nga Abayindi bali ebitundu 3. Nti era byonna ebyogerebwa eyeyita omuyizi byappa.