Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,222 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Ku kizinga Lolwe tebalina webasuza basuubirwa kubeera na #COVID-19

July 3, 2020 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko ka #COVID-19 kibabuuseeko olunaku olwaleero bebadde bakyaddeko ku kizinga ky’e Lolwe ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Namayingo bwebategeezeddwa nti abalowoozebwa okubeera n’obulwadde bwa #COVID19UG 89 bwebalagirwa okudda mu maka gaabwe olw’okuba eddwaliro teryalina mmere yakubaliisa mu kifo webaali bakuumirwa.
Akulira Eddwaliro lya Lolwe Island Health Centre, Ochan Daniel ategeezezza akakiiko nti abasawo tebalina webasula wadde ebyakwambala ebibatangira ekirwadde kya COVID-19, nga n’abasuubirwa okubeera n’ekirwadde kino webakuumirwa tewali bitanda wadde kyebabaliisa.