Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live

Ku kitebe kya Munisipaali y’e Njeru wazuuliddwayo omulwadde wa COVID-19

September 2, 2020 · Mubiru Ali

Ekitebe kya Munisipaali y’e Njeru mu Disitulikiti y’e Buikwe kigaddwa okumala enaku 7 oluvannyuma lw’omu ku bakozi okukeberebwa nasangibwa n’ekirwadde kya #COVID-19.

Okusinziira ku avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Disitulikiti y’e Buikwe Richard Bbosa agamba nti abakozi bonna aba Munisipaali bagiddwako sample naddala abo abatuula ku kitebe nga baali babeera neyazuuliddwa n’obulwadde era nga balagiddwa okweyawula ku balala.