BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

kt mwamuwa mutya ettaka lya gavumenti kubwereere

Akulira akakiiko k’ebyettaka e Masaka Jamillah Lunkuse apondoose n’alabikako mu kkooti ento e Lwengo oluvannyuma lw’omulamuzi w’eddaala erisooka; Abdu Erias Kaiza okumuwa nsalessale eyawedde,ko eggulo nga 20/02/2019 ng’amulagira okuleeta ebiwandiiko n’ekyapa kwe baaweera maneja wa KT Musa Kavuma ettaka lya Gavumenti ku bwereere ate ye n’amala n’aliguza Rev.John Kalagiro kw’asengula abantu.
Lunkuse amaze enfunda eziwera nga yeebulankanya okulabikako mu kkooti eno nga naye awera nga bw’atajja kulinnya mu kkooti eno kuba omusango ogwogerwako tagumanyi era ne kkooti ento terina buyinza bumuwozesa.
Ono yatuuyanidde mu kaguli ka kkooti bannamateeka ku njuyi zombiriri okuli abali ku ludda lw’abawawaabirwa; Appolo Kwesiga eyakiikiridde Hon. Ssegona okuva mu kampuni ya Lukwago and Advocates nga bamusoya ebibuuzo okulaga kkooti ebiwandiiko n’ekyapa kwe baaweera Musa Kavuma ettaka lino.
Lunkuse yasoose kusaba omulamuzi Kaiza agobe ab’amawulire mu kkooti eno ekitasobose olwo n’akabatema nti ebiwandiiko byamubulako nga n’ekyapa omulamuzi kye yamutuma takireese.
Kino kiggye omulamuzi Kaiza mu mbeera n’amukunya oba ddala yaliwo ng’ettaka
lino likubibwa n’addamu nti ye talinnyangayo yadde ekigere kuba ogw’okupunta si mulimu gwe. Wabula Lunkuse akakasizza kkooti nti Kavuma yaweebwa ettaka lya yiika 200 kyokka ng’eririko enkaayana liri yiika 280. Omulamuzi Kaiza omusango yagwongeddeyo okutuusa nga 10/April/2019.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply