Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 430 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kooti eyisizza ebibaluwa bi bakuntumye ku Msgr Magembe

May 18, 2016 · Mubiru Ali

Kooti ento ku Buganda Road eyisizza ebibaluwa bi bakuntumye ku  Msgr Expedito  Magembe bwanamukulu wa Bukalango Mt Zion awerennembe n’emisango gy’okwekobaana okwonoona erinnya lya Faaza munne ( Kitaffe mu katonda )

Ebibaluwa bino bibakuntumye bufulumuziddwa omulamuzi wa kooti ento   Suzan Anyeko nga biyita Msgr Magembe alabikeko mu kkoti n’abantu abalala musanvu nga 27 .05 . 2016 .

Abavunaanibwa abalala mulimu John Baptist Mukajanga omubuulizi e Bukalango ku Mt. Zion , Nathan Ssenkomago omukunngaanya w’amawulire mu lupapula olumu , Battulumaayo omudereeva wa Msgr Magembe, Annet Kaitesi nga ono yeekolera gigye ne  Milly Kirungi omusomesa mu Najjanankumbi Junior School –  ekibafuula  okuwera omunaana .

Winnifred Nantongo ne Ssemei Wessali Maneja ku Telefaayina ya Delta bebaasooka okuvunaanibwa  .

Omusango gulaga nti mu Gatonya w’omwaka guno abavunaanibwa baagezaako okuwa n’okufulumya amawulire g’obulimba ku muntu wa Katonda Faaza Jacinta Kibuuka n’ekigenderwa kyokuttattana erinnya rye  nga bagamba nti yali yakabasanya Nantongo .

Nantongo era avunaanibwa omusango omulala ogwokuwa Police amawulire ag’obulimba ekikontana n’amateeka .