Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 114 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Kooti enkulu ewulira okusaba kwa Besigye okweyimirirwa.

July 11, 2016 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Wilson Masalu Musene enkya ya leero awulira okusaba kwa Besigye okweyimirirwa okuva ku meere e Luzira gyakulungudde ebbanga lya myezi ebiri.

Abamu ku bawagizi ba Col Dr Kizza Besigye bakedde kweyiwa ku kooti enkulu era yonna munda nebooga wabula zo enguudo eziri okumpi n’ekkooti eno ziggaddwa omuli Buganda road, Lumumba Avenue, Shimoni Rd okutuusa nga kooti emaze okwabuka.

Besigye atuusiddwa emmotoka entono ey’amakomera okuva e Luzira era ng’atuusiddwa ku kooti ku ssaawa nga 09: 30 wakati mu by’okwerinda ebingi era bw’abadde ayingira akaguli abawagizi be bamukwatidde emizira. Besigye avunaanibwa gwa kulya munsi ye lukwe.