Breaking
News: Abatamiivu e Nebbi batonedde Ekereziya ssente. News: Bannayuganda abawulira nti Uganda teriimu mirembe mugifulume – Krina Styla News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 99 listening Simba FM Live

KOLA POSTMORTEM OZUULE EKISSE GEN. LOKECH – IGP OCHOLA

August 21, 2021 · Mubiru Ali
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martin Okoth Ochola avuddeyo nakungubagira abadde omumyuuka we DIGP Major General Paul Lokech. Ategeezezza nti alagidde Director of Medical Services, Dr. Moses Byaruhanga okukola postmortem okuzuula kiki ekiviiriddeko Gen. Lokech okufa.
Ebyokwerinda binywezeddwa mu maka ga Gen. Lokech nga ne Bannamawulire tebakirizibwa kuyingira yo. Abebitiibwa ab’enjawulo batuuse mu maka ge okuli Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo wamu n’Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Kitgum Hon. Lilian Aber.