Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 447 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Kkooti ya Standard Utilities and Wildlife etuula e Makindye etandise okuwa ebibonerezo ba Agenti abatanda layini ze ssimu ebibonerezo lwakuwandiisa

June 11, 2026 · Radio Simba

🚨 Kkooti ya Standard Utilities and Wildlife etuula e Makindye etandise okuwa ebibonerezo ba Agenti abatanda layini ze ssimu ebibonerezo lwakuwandiisa kkaadi z’essimu mu lukujjukujju. Mu musango gwa Uganda vs Kasozi Bosco, omuvunaanibwa yawandiisa kkaadi ze ssimu eziwerako ku mukutu gwa Airtel Uganda ngalaga za Kkasitoma omu wabula oluvannyuma naziguza abantu abalala ababadde bazikozesa okuyingirira amayengo ga Leediyo okuli Radio Simba oluvannyuma nebasaba abantu ssente nga baziweereza ku layini ezo.
Kkooti yawadde Kasozi ekibonerezo kyakusibwa emyaka 4 oba okusasula engasi ya kakadde 1 mu emitwalo 80.
Mu musango ogwokubiri ogwa Uganda Vs Masereka Joward n’abalala 2 ngono atunda layini za Airtel e Kasese bweyali awandiisa layini ya kkasitoma omu, yakozesa olukujjukujju nawandiisi kkaadi eyookubiri ngakozesa ebikwata ku kkasitoma oluvannyuma nagiguza abantu abalala abenyigira mu bubbi e Kalagi.
Omu ku bavunaanibwa 3, Masereka Joward yakirizza omusango era nasaba Kkooti okumuwa ekibonerezo ekisaamusaamu. Ono

Radio Simba News