Kkooti ya Buganda Road ezeemu enkya yaleero okuwulira ogwa Bobi Wine

Okuddamu okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kuzzeemu enkya yaleero ku Kkooti ya Buganda Road ne mukkomera e Luzira. Omulamuzi Esther Nahilya wakusinziira mu Kkooti ku Buganda Road nga awuliziganya butereevu nabali mu e Luzira Bobi Wine gyateereddwa mu kaguli munkola empya eyatongozebwa ekitongole kyamakomera eyitibwa ‘Tele-Conferencing’.
Okusinziiira ku Ssaabalamuzi agamba nti enkola yakuyamba ku misango egyetaaga obukuumi obw’amaanyi ekijja okuyamba okukendeeza kunsimbi, obukuumi wamu n’obudde obukozesebwa mukutambuza abasibe.
Akulembeddemu Bannamateeka ba Bobi Wine Asuman Basalirwa agamba nti abagenda okweyimirira Bobi Wine webali mu kkooti okuli; Maria Matembe, Omubaka Mbwa Tekamwa Gaffa ne Nsamba Patrick.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abavubuka 2 baweereddwa obutwa e Kyazanga, bafu