BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Kkooti eyolekedde okugoba ogwa Dr. Stella Nyanzi

Kkooti yooku luguudo Buganda etiisatiisizza okugoba emisango egivunaanibwa omusomesa w'e Makerere Dr. Stella Nnyanzi  egy'okuvvoola Pulezidenti Museveni ssinga butuuka ennaku z'omwezi 18 Mukutulansanja nga  Ssaabawaabi wa Gavumenti talaze kweyongerayo na misango gino.

Omulamuzi James Eremye ali mu mitambo gy'omusango guno yagwongezzaayo oluvannyuma lwa Nelly Asiku ayakiikirira Ssaabawaabi wa Gavumenti okutegeeza kkooti nti Ssaabawaabi yali tannaba kubaako ky'asalawo ku musango guno olw'okuba waaliwo akeediimo k'abalamuzi .  

Wabula ye Puliida wa Dr. Stella Nnyanzi,  Isaac Ssemakadde ategeezezza Kkooti nti Ssaabawaabi wa Gavumenti ayisa olugaayu mu nkola ya kkooti so nga Dr. Stella Nnyanzi abadde alabikako eri kkooti nga bwekyalagibwa,  naye okuva nga 27 Kasambula omwaka oguwedde tewali kiva wa Ssaabawaabi. 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply