Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 440 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Kkooti etandise okuwuliriza emisango gya nnaggomola 50

August 30, 2016 · Mubiru Ali

Kooti enkulu mu Kampala etandise okuwulira emisango egisoba mu makuni ataano nga gino gya nnaggomola omuli okukwata abaana, obwa kkondo obw’ekika ekya waggulu, obutemu wamu n’okwekakaatika ku bakazi abakulu.

Emisango gino guwulirwa omulamuzi wa Kkooti enkulu  Wilson Masalu Musene.

Mu bavunaanibwa mwemuli omu ku bakozi b’awaka Florence Komuhangi nga avunaanibwa omusango gw’okukkira akaana akalenzi ak’emyaka ebiri gyokka n’akeekukuutirizaako nga kaali kamulekeddwa okukalabirira. Mu kuwuliriza omusango guno, Komuhangi yeegaana nti teyeekukuutirizangako ku mwana ono ate nga waliwo eyamulaba.

Wabula mu Kasambula w’omwaka 2013 nga 30, Komuhangi yakeberwa omusaayi ng’alina akawuka akaleeta Mukenenya ku myaka 19 era yasindikiwa ku alimanda mu kkomera e Luzira.

Omusango gwe gwa kuwulirwa nga 12 Mutunda omwaka guno.