Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 277 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Kkooti esingisizza Stella Nyanzi omusango

August 1, 2019 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu avuddeyo olunaku olwaleero nasingisa eyali omusomesa w’e Makerere Dr. Stella Nyanzi gw’okukozesa obubi internet – Cyber Harassment. Nyanzi abadde ku alimanda okumala emyezi 8.
Dr. Stella atabadde na Bannamateeka be wabula kkooti era agenze mu maaso okumusomera ensala y’omusango ogumuvunaanibwa.
Omulamuzi amugyeeko omusango gw’okulengezza omukulembeze w’eggwanga.
Omulamuzi ategeezezza ababadde mu kkooti nti Dr. Stella byeyawandiika ku mukutu gwe kyonoona obwongo bw’abaana abato nti temwalimu bubaka bwonna okuleka okuvvoola.
Ono ayolekedde okusibwa emyaka 3 oba okuwa omutango gwa kakadde kamu mu emitwalo ana.