Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 430 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kkooti esalawo gwakuna oba Kamoga baneewozaako

March 13, 2017 · Mubiru Ali

Kooti ekola ku  misango gy’ensi yonna etaddeewo nga ennaku z’omwezi 4 Kafuumuulampawu omwaka guno nga kwegenda okuweera ensala yaayo oba abantu 14  abateeberezebwa okwekobaana nga baliko kyebamanyi ku bayisiraamu abazze batirimbulwa, beewozaako oba nedda. 

Olunaku luno lulangiriddwa abalamuzi abakulembeddwamu  Omulamuzi Ezekiel Muhanguzi nga lulangiriddwa enkya ya leero oluvannyuma lwa kkooti okumatizibwa oludda oluwaabi ne ba puliida b’abawawaabirwa nti ensonga eno erimu eggumba.

Abantu abawawaabirwa mulimu akulira ekiwayi ky’abatabbuliiki mu ggwanga, Sheikh Yunus  Kamoga nga yaakulembeddemu banne nga bateebererezebwa okubaako kyebamanyi ku ba maseeka abazze battibwa omuli Sheikh Hassan Kirya ne Sheikh Mustafa Bahiga nga bano battibwa mu 2014 ne 2015.

Era abantu bano bawerennemba n’emisango emirala egyekuusa ku bikolwa ebyobutujju n’okugezaako okutemula Sheikh Haruna Jjemba.