KKOOTI ERAGIDDE YUNIVASITE YE MAKERERE EREKE OWA NUP MU LWOKAANO LWA GUILD PULEZIDENTI

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kkooti Enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro ekigaana Ssetendekero wa Makerere okujja Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Judith Nalukwago mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’obwa Gulid Pulezidenti.
Kkooti eyakubiriziddwa Omulamuzi Emmanuel Baguma olunaku lweggulo yategeezezza nti Nalukwago yawandiisibwa mu mateeka akakiiko k’ebyokulonda aka Yunivasita nabwekityo alina okukirizibwa okunoonya akalulu.
Nalukwago avuganya abantu abalala 4 okuli; Joshua Mutabazi owa Alliance for National Transformation-Uganda – ANT, Joseph Tumusiime (Independent), ne Mr Aaron Oguttu (NUP leaning). https://youtu.be/Inoagxyk7Pw

Share.

Leave A Reply