Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 315 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Kkooti eragidde muwala wa Katanga akwatibwe

January 8, 2024 · Mubiru Ali
Ab’oluganda lwomusuubizi Henry Katanga bawaliriziddwa okwoza ku mmunnye mu Kkooti y’Omulamuzi Erias Kakooza e Nakawa, Bannamateeka ba nnamwandu Molly Katanga bwebategeezezza Kkooti nti omuntu waabwe tasobodde kujja mu Kkooti kuba teyewulira bulungi.
Bannamateeka bategeezezza Kkooti nti Molly yalongooseddwa omulundi ogwokutaano nabwekityo nga tasobola kuyimirira mu kaguli nga Kkooti bweyali eragidde alabikeko gyeri.
Abateeberezebwa okwenyigira mu butemu bwa Katanga 3 balabiseeko mu Kkooti olwaleero era oludda oluwaabi nerutegeeza nti lwamalirizza okukola okunoonyereza era nerusaba Kkooti eyise ekiwandiiko ekikwata Molly Katanga ne muwala we Martha Nkwanzi Katanga abatanalabikako mu Kkooti yadde nga bakayisa ebiragiro 2 ku bbo.
Omulamuzi alagidde Martha Nkwanzi Katanga akwatibwe ku misango okuli okwonoona obujulizi.