Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 95 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Kkooti eragidde Gavumenti okuliyirira Maama gwebattira omwana mu kwekalakaasa

September 25, 2023 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Musa Ssekaana alagidde Gavumenti okuliyirira omukyala Hajara Nakitto eyafiirwa omwana we mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 obukadde 50.
Omulamuzi Ssekaana yategeezezza nti okufa kw’omwana ono kumenya mateeka era nga kuggyibwako eddembe ly’obulamu mu ngeri ey’ekimpatiira, Bwatyo nategeeza nti Gavumenti yabadde erina okusasulira ebikolwa byayo.
Nakitto yavaayo nawawabira Ssaabawolereza wa Gavumenti nga agamba nti Mutabani we Amos Ssegawa yakubwa amasasi nga 19-November 2020 abasirikale ba Uganda Police Force n’abeggye lya UPDF bwebakuba amasasi mu bantu nga bagezaako okukkakanya obujagalalo obwali buva ku kukwatibwa kwa Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu Disitulikiti y’e Luuka.
Gavumenti yavaayo netegeeza nti abantu 54 bebafiira mu kwekalakaasa kuno okwamala enaku 2 era Pulezidenti Museveni navaayo neyeyama okuliyirira abafamire z’abantu abo abattibwa singa kyali kikakasiddwa nti baali tebekalakaasa.
Museveni yategeeza nti 32 ku battibwa baali bekalakaasa so nga 22 tebalina musango battibwa mu butanwa. Nakitto, nga mutuuze mu Kinoni Town Council mu Disitulikiti y’e Lwengo yategeeza Kkooti nti mutabani we eyali mu Siniya eyookubiri ku Lubiri High School mu Kampala, yakubwa abasirikale abaali mu yunifoomu y’eggye lya UPDF.