Latest News
0

kkooti eragidde gavumenti okuliyirira ingride obukadde 170

Kkooti enkulu mu Kampala olunaku olwaleero esaze omusango ogwabibwa Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Ingrid Turinawe. Omulamuzi Oguli agubadde mu mitambo avuddeyo nalagira Gavumenti eriyirire Ingride Obukadde 170 olw’omusirikale wa Poliisi eyarinyirira eddembe lye wamu n’okumuwebuula nga amunyiga amabeere.
Wabula omulamuzi Oguli yawakanyizza ekyokuwa Ingride obukadde 300 bweyali ayagala Gavumenti emuliyirire wamu n’omugenzi Felix Kaweesi nga agamba zino ensimbi nnyingi nnyo.
Bino byonna byaliwo nga 20-April-2012 Turinawe bweyali agezaako okusimbula ewuwe mu makaage e Gayaza Nakwero ayolekere Nansana gyebaali bagenda okutongoleza ekisinde kya 4GC abasirikale abaali bakolera wansi w’ebiragiro by’Omugenzi Andrew Felix Kaweesi bamukwasa amaanyi nebamuteeka mu kabangali ya Poliisi awo omusirikale wa Poliisi omusajja atategeerekeka mweyamusikira amabeere.

More Similar Posts

Menu