Breaking
News: Abatamiivu e Nebbi batonedde Ekereziya ssente. News: Bannayuganda abawulira nti Uganda teriimu mirembe mugifulume – Krina Styla News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 265 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

kkooti eragidde gavumenti eriyirire besigye obukadde 10

March 16, 2019 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Musa Ssekaana yavuddeyo olunaku lw’eggulo nalagira Gavumenti eriyirire Col. Dr. Kizza Besigye munnakibiina kya Forum for Democratic Change obukadde 10 olwa Poliisi okulinyirira eddembe lye bweyamukwata nemubuzaawo nga yakatuuka ku Kisaawe Entebe.
Nga 3-October-2016 Besigye yakwatibwa Poliisi y’oku kisaawe nga yakatuuka ku nnyonyi ya Kenyan Airways. Omulamuzi Ssekaana yakiriziganyizza ne Munnamateeka wa Besigye Ladislous Rwakafuuzi nti engeri Poliisi gyeyakwatamu Besigye yali ewebuula omuntu eyali avuganyizzaako ku bukulembeze bw’eggwanga. Rwakafuuzi agamba nti Besigye bamusikambula empale ku maddaala g’ennyonyi nga buli omu alaba