Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 231 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kkooti eragidde Bank of Uganda eriyirire Sudhir

August 26, 2019 · Mubiru Ali
Kkooti etawulula enkaayana z’ebyobusuuzi egobye omusango gwabukadde nabukadde ogubadde guvunaanibwa omusuubuzi Sudhir Ruparelia wamu ne Crane Bank nga guno gubadde gumaze emyaka 2.
Kkooti egamba nti oluvannyuma lwa Crane Bank okugiteeka mu mikono gya Bank of Uganda, kitegeeza nti yali tekyaliwo era nga terina buyinza buwawabira Meera Investment ne Sudhir.
Kkooti eno egobye omusango era neragira Bank of Uganda esasule Sudhir ensimbi zonna zatadde mu musango guno. Bank of Uganda yali esabye kkooti eragira Sudhir asasule obuwumbi 397 nga bamuvunaana okusuula bbanka ye eya Crane Bank.
Sughir nga ayita mu Bannamateeka be aba Kampala Associate Advocates yasaba kkooti eno egobe omusango nga agamba nti Bank ye eya Crane Bank obuyinza bwokuwawabira Sudhir bwegigibwako bweyatwalibwa Bank of Uganda nga tebasobola kuvunaana Sudhir ng’omu ku bantu abaali ba Director baayo.