Kkooti eragidde Baguma akwatibwe

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road James Kaleman ayisizza ekiragiro ki bakuntumye nga kiragira okukwata eyali omuduumizi wa Police makkati ga Kampala Aaron Baguma. 

Baguma abadde ateekwa okulabikako mu kkooti ya Buganda Road abeeko by’annyonnyola ku misango egimuvunaanibwa omuli ;Okutta omuntu, okwekobaana okukola obwa kkondo n’okuwamba omuntu n’ekigendererwa eky’okumumiza omusu.

Kino nno okubeera bwebiti kwekuba nga omuwaabi w’emisango mu kkooti ya Buganda Road Joshua Muwaganya yategeezezza omulamuzi nti Baguma alina ky’amanyi ku bikolwa eby’ettemu ku mukazi omusuubuzi Betty Katushabe eyattibwa.

Nabwekityo Baguma by’agaanye okulabikako mu kooti omulamuzi n’ayisa ekiragiro ekimukwata wonna waasangibwa atwalibwe mu kkooti.

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply