Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,023 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kkooti eragidde abeyimirira Kakwenza bakwatibwe

April 11, 2022 · Mubiru Ali

Kkooti mu Kampala olunaku olwaleero eyisizza ekibbaluwa kibakuntumye eri abo bonna abeyimirira omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija olwokulemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obwokuleetera Kkooti omuntu gwebeyimirira. Omulamuzi Dr. Douglas Singiza agamba nti bano 4 balina okusasula obukadde 10 buli omu oba okusibwa. Bano kuliko; Munnamateeka Julius Galisonga, Ssaabawandiisi wa National Unity Platform – NUP David Lewis Rubongoya, Anna Ashaba ne Job Kaija.