Kkooti enkulu mu Kampala ewadde eyaliko Managing Director wa NSSF David Chandi Jamwa.

Ku lw’okubiri lwa wiiki ewedde Kkooti yalagira Jamwa okuwaayo Obukadde Kkumi mu Kkooti mu mpeke wamu n’obukadde bitaano obutali bwabuliwo.  

Omulamuzi Stella Arach-Amoko bwabadde awa Jamwa beyiro agambye nti okusinziira ku mbeera y’obulamu bwe gyebulimu kyavudde amuta.

Jamwa yeyimiriddwa abantu bataano okuli ne Mukyala we Catherine Jamwa era nga buli omu asabiddwa okusaayo omusingo gwa bukadde bitaano ezitali za buliwo. Ye Jamwa asabiddwa okuwaayo Ppaasipoti, ekyapa ky’ettaka nga kino kiri mu manya ga mukyala we nga ettaka lisangibwa Munyonyo ngalibaririrwamu obuwumbi 2.1.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Katikkiro ayanjulidde Obuganda Ssenkulu wa Uganda Breweries Ltd omuggya