Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 625 listening Simba FM Live

Kkooti enkulu mu Kampala esidinse Kamyuka munkomyo

June 14, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala esingisizza Ivan Kamyuka omusango gw’okutta munne John Ahimbisibwe oluvannyuma lw’okukaayanira omukazi mu Club Guvnor ekifo ekisanyukirwamu mu Kampala.

Omulamuzi Wilson Kwesiga yejjeerezza Kamyuka omusango gw’obutemu n’amusingisa ogw’okutta omuntu mu butanwa nga yesigama ku bujulizi bw’oluyi oluwaabi obualga nti eyattibwa ye yasooka okulumba Kamyuka ate n’okusosonkereza muganzi we Nima Nyarwaka gwe baakaayanira.

Ahimbisibwe yafa mu kiro nga 2 – August – 2015 ku Case Clinic oluvannyuma lw’okuvaamu omungi mu kiwundu kyeyafuna kunsingo Kamyuka bwe yamukuba giraasi.