Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kkooti enkulu mu kampala egobye okusaba kwokweyimirirwa okwabavunaanibwa okutta Maj. Kiggundu n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa

May 25, 2017 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Wilson Kwesiga enkya yaleero agobye okusaba kw’abantu bana abateberezebwa okuba nga bebatta Maj. Kiggundu ko n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa mu November w’omwaka oguyise.

Omulamuzi era awakanyizza ekyabavunaanibwa okugamba nti eddembe lyabwe ery’okuwozesebwa mubwangu era mu mateeka lyali lityoboddwa olw’ensonga nti basimbibwa mu kkooti nga 6 January ne mu May nga enaku ezibaweebwa ssemateeka 180 tezinaggwako.

Omulamuzi era agambye nti bano bakuwozesebwa ne mu kkooti ya International Crimes Division esuubirwa okutandika emirimu gyaayo mu myezi esatu mumaaso.

Abavunaanibwa kuliko; Sheik Yahaya Mwanje, Muhammad Buyondo, Ssekandi Musa ne Ssendegeya Abdul Wahab.