Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 359 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Kkooti Enkulu ekirizza abantu 4 abavunaanibwa okusanyaawo obujulizi mu musango gwa Katanga okweyimirirwa

February 21, 2024 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Isaac Muwata olunaku olwaleero akirizza bawala b’omugenzi Katanga 2 okweyimirirwa ssaako omukozi wa waka George Amanyire ssaako n’omusawo Otai Charles.
Omulamuzi Muwata alagidde Patricia Kakwenza ne Martha Nkwanzi okusasula obukadde 2 ezobuliwo wamu n’okuwaayo ppaasippooti zaabwe eri Kkooti nga tebanayimbulwa. Omulamuzi alagidde bano 4 okulabikangako ewa Registrar wa Kkooti buli lwa mmande esooka mu wiiki.
Wabula Munnamateeka wabano Jet Tumwebaze agamba nti waliwo envunza eri mu offiisi ya DPP eyetaaga okutundula nekikwanso ekisingayo obunene. Ono agamba nti DPP affuuse munoonyereza nga atuuse n’okugenda mu makomera ngayagala abasibe bakyuuse sitaatimenti bakole eziruma banaabwe. Ono ayongerako nti batuuka n’okukyuusa omusibe nebamuggya e Luzira nebamutwala e Kiggo nga baagala akyuuse sitaatimenti gyeyakola ku Poliisi.
Bya Christine Nabatanzi