Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 210 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kkooti enkulu egobye omusango gwa Bobi Wine

May 11, 2019 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala olunaku lw’eggulo yagobye omusango gw’omubaka wa Kyaddondo East era Munnakisinde kya People Power – Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine gweyali awawabidde Poliisi ya Yuganda olw’okulinyirira eddembe lye ery’okukola okufuna eky’okuzza eri omumwa nga ewera ebivvulu bye.
Omulamuzi Harriet Woloyo, yagaanye eky’okugaana Poliisi okulemesa omuyimbi Bobi Wine okuyimba nga agamba nti Bobi Wine yalemereddwa okulaga obujjulizi obwoleka engeri ebivvulu Poliisi byeyawera gyebyalinyiriramu eddembe lye okukola, okukuba olukungaana, okwogera wamu n’okwetaaya nga omuntu.