Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 676 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

KKOOTI ENKULU E KAMPALA ERAGIDDE BBAASI ZA PIONEER 26 ZIBOYEBWE OLWOKULEMERERWA OKUSASULA EBBANJA LYA SPARE LYA BUKADDE 152

May 18, 2017 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala eragidde bbaasi abiri mumukaaga eza Pioneer Easy Buses ziboyebwe oluvannyuma lwabaddukanya bbaasi zino okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde 152.

Amyuka Registrar Muse Musimbi awadde bawannyondo ba Kkooti aba Libra Auctioneers nga bakulembeddwamu Bonny Rwamukaaga olukusa okubowa bbaasi zino era nga batandise ne Bbaasi Kkumi namukaaga ezasangiddwa ku Constitutional Square nezitwalibwa e Nansana wezinatundirwa ku nnyondo.

Charles Mushabe agamba nti yawa kkampuni ya Pioneer Easy Busy spare wa bbaasi abalirirwamu obukadde kikumi mu ataano era kkooti ye Nakawa yalagira Pioneer okumusasula wabula nebalemwa.