Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 224 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kkooti emmye Kakwenza Ppaasippooti ye

February 7, 2022 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olwaleero agobye okusaba kw’omuwandiisi w’obutabo Kakwenza Rukirabashaija okwokuweebwa Ppaasipooti ye okugenda e Bugirimaani okufuna obujanjabi wamu nokukima engule ye gyeyawangula. Omulamuzi ategeezezza nti tewali bwetaavu bwabujanjabi bwamangu bwetaagisa Kakwenza kugenda bweru kujanjabwa.
Omulamuzi Singiza agamba nti engule Kakwenza gyeyawangula basobola okukola omukolo ku ‘online’. Omulamuzi era agaanyi okusindika fayiro mu Kkooti Enkulu okunoonyereza ku bigambibwa nti Kakwenza yatulugunyizibwa nga agamba nti tekubaddeko kirayiro kya Kakwenza okuleka ekya Munnamateeka we. Okuwulira omusango kwakutandika nga 23-March-2022.