Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 428 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kkooti ekirizza okuwulira okusaba kw’Ababaka ba NUP

October 20, 2021 · Mubiru Ali

Kyadaaki Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka asazeewo olunaku olw’okuna nga lwagenda okuwulirirako okusaba kw’Aababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates ne Hon. Allan ssewanyana okwokweyimirirwa.
Kino kidiridde Munnamateeka w’Ababaka bano Musa Matovu, okwewuuba ku Kkooti Enkulu e Masaka kumpi bwoya kumuggwa ku ntubwe nga anoonya Omulamuzi anawulira okusaba kw’Ababaka.
Omulamuzi omuggya owa Kkooti eno Lawrence Tweyanze yakirizza okutandika okuwulira okusaba kw’Ababaka olunaku olwenkya.
Bano baali bateereddwa Omulamuzi Victoria Nakintu eyakyuusiddwa wabula nebaddamu nebakwatibwa.