Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti News: Uganda buli kimu kifu, owola otya omuntu obukadde 50 ngalina okukuwa amagoba obukadde 250! Mususse!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 217 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Kkooti Ejulirwamu ekakasizza Munnakibiina kya NUP ng’omubaka wa Bukomansimbi North

April 28, 2022 · Mubiru Ali

Kkooti Ejulirwamu olunaku olwaleero ekakasizza Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Dr. Ndiwalana Christine Nandagire ng’omubaka omulonde owa Bukomansimbi North mu Palamenti. Ono Kkooti Enkulu e Masaka yali yasazaamu okulondebwa kwe nga egamba nti ebiwandiiko bye ebyobuyigirize byali tebitegeerekeka bulungi era neragira okulonda kuddibwemu, wabula kino Dr. Ndiwalana yakiwakanya era naddukira mu Kkooti Ejjulirwamu. Ono ategeezezza nti obuwanguzi bwatuuseeko abadde Katonda.