Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 444 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Kkooti egobye Omusango ogukwata ku bintu ebyaddizibwa Obwakabaka

February 15, 2024 · Mubiru Ali

Ssaabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika ayanjulidde bannamawulire ebyavudde mu nsala ya kkooti olunaku lw’eggulo ku musango Omulangira Kalemera Harold Kimera gwe yawaaba ng’avunaana Kabaka ne Ssaabawolereza wa Uganda okutwala ebintu bye yayita ebibye okuli Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba n’ettaka eddala. Ono yaloopa mu mwaka gwa 2020 ng’awakanya etteeka eryakolebwa mu 1993, omwasinziirwa okuddiza Obwakabaka n’obukulembeze obw’ensikirano obulala ebintu byabwo ebyali byatwaliibwa Gavumenti.

Ssaabawolereza agamba nti waliwo abantu ab’enjawulo abagenda bavaayo ne bawaaba emisangosango ku Bwakabaka, bano abategeezeza nti Obwakabaka bulina bannamateeka abakugu, era tebajja kukkiriza muntu yenna alowooza nti ajja kubaako by’awawagula ku Bwakabaka ng’ayita mu misango egy’ekimpatiira.

Munnamateeka Dennis Bugaya okuva mu Buganda Land Board annyonyodde nti ensala ya Kkooti eraga nti eteeka Kalemeera lyawakanya, lyakolebwa mu butuufu era n’ebintu byonna ebyaddizibwa Kabaka byadizibwa mu butuufu era mu mateeka kyokka Kkooti etaputa Ssemateeka si yeevunanyizibwa ku nsonga z’obugulumbo nga obwo.

Kkooti eragidde Omulangira Kalemera aliyirire Kabaka ne Gavumenti ey’awakati ensimbi zonna ezisaasanyiziddwa mu musango guno.

Obwakabaka bwebaziza nnyo banamateeka babwo mu musango gunno omwabade K&K Advocates, Buganda Royal Chambers ne Buganda Land Board legal department olw’obukugu bwebayoleseza mu kuwoza omusango gunno ekituusiza Obwakakabaka ku buwanguzi.