Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 567 listening Simba FM Live

Kkooti egobye Omusango BOU gweyajulira ku Sudhir

June 23, 2020 · Mubiru Ali

Kkooti ejjulirirwamu olunaku olwaleero egobye okujjulira kwa Bank of Uganda kweyateekayo nga ewakanya ensala ya Kkooti Enkulu ku musango gwebaali bawawabidde Dr. Sudhir Ruparelia okubulankanya ensimbi obuwumbi 397 okuva mu Bbanka ye eya Crane Bank.
Abalamuzi basatu nga bakulembeddwamu Omumyuuka wa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bakiriziganyizza n’omulamuzi wa Kkooti Enkulu David Wangutusi nga bagamba nti tebalabawo bukuluppya ku ludda lwa Sudhir ekiyinza okuvaamu omusango.
Omulamuzi alagidde Bbanka Enkulu okuliyirira Sudhir ensimbi zakozesezza mu musango guno mu Kkooti Ejjulirirwamu wamu ne mu Kkooti Enkulu.