Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 417 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Kkooti egobye omusago gw’omusolo ku mobile money

September 3, 2018 · Mubiru Ali

Omusango ogwali guwabiddwa Bannayuganda nga guvunaana Kkampuni z’amasimu okuli Airtel, MTN ne Africell nga guwakanya okuggya omusolo ku mobile money gugobeddwa kkooti enkulu mu Kampala.

Nga 1-July, omusolo ogwa 1% ku nkola ya mobile money gwateekebwa mu nkola ekyaviirako Bannayuganda babiri okuddukira mu Kkooti nga bawaabira ekitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga (URA) wamu ne kkampuni z’amasimu olwokusolooza omusolo guno.

Wabula Bannamateeka abawolereza URA bategezezza Kkooti enkulu nti Kkampuni z’amasimu zigibwe ku musango guno era n’omusango gugobwe kuba bbo bateeka biragiro mu nkola okuva mu Gavumenti ne URA bwatyo munnamateeka Ronald Baluku bweyategeezezza kkooti nga omusango gubadde guwulirwa omulamuzi Musa Ssekaana.