Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 939 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kkooti egobye okusaba kw’abooluganda lwa Kirumira

February 15, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti ya Buganda Road egobye okusaba okwali kwagitwalirwa abooluganda lwa Muhammad Kirumira nga baagala ayimbulwe kkooti awatali kwekwasa nsonga yonna. 

Wabula omulamuzi w'eddaala erisooka mu kkooti yooku Buganda road Robert Mukanza asazeewo n'agamba nti kkooti eno terina buyinza kuyingirira kkooti ya Police bweba nga ekola emirimu gyayo okujjako nga waliwo kkooti endala esingako. 

Mukanza era ayongeddeko nti Kirumira ono omupoliisi kkooti gy'awozesebwamu ntuufu nnyo okumuwozesa ate nga n'ebifo gyeyasibibwa bimanyikiddwa bulungi nnyo. N'olwekyo omusango kwekugugoba. 

Wabula bino byonna webibeereddewo nga Munnamateeka wa Kirumira Jude Mbabali ne Taata wa Kirumira abaateekayo okusaba kuno tebaliiwo .