Kkooti egobye okusaba kwa Nyanzi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulamuzi wa Kkooti y’e Mengo Esther Nsambu ettuntu lyaleero awadde ensala ye ku musango ogwatwaliddwayo Munnakibiina kya National Unity Platform Chairman Nyanzi FRED Ssentamu nga awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nserekonga ayagala baddemu okubala akalulu okuva mu bifo ebironderwamu 53 ku ebyo 126 ebironderwamu mu Kampala Central.

Returning Officer wa Kampala Central Musiime Doreen agamba nti yategeezeddwa kukuddamu okubala obululu nga ebbanga liyiseewo nga amaze okuweereza ebyava mu kulonda ku Kakiiko k’enyokulonda aketengeredde nga kati Kkooti terina buyinza kulagira kuddamu kubala bululu, kusazaamu byavudde mu kalulu oba okuwulira ekikwatagana n’okubba akalulu.
Ono ayongedde nti ba agenti ba Nyanzi bonna bateeka emikono ku DRF forms nga balaga nti bakiriziganya nebyava mukubala obululu.
Omulamuzi ategeezezza nti enjawulo ey’obululu 1023 nnene nnyo nga Nyanzi yalina okwekubira enduulu mu naku 7 nga bamaze okulangirira.
Kkooti era egamba nti tewabadde bujulizi nti waliwo ba agenti be abagobebwa okuva mu bifo awalonderwa, DRF Forms tezibaddewo, nga ate okukutiisatiisa n’ebikolwa ebirala tebitegeeza kuddamu kubala bululu wabula nsonga ezikwatibwa akakiiko kebyokulonda.
Bwatyo omulamuzi ategeezezza nti tebetaaga kuddamu kubala bululu era okusaba nakugoba nga Nyanzi alina okusasulira ensimbi Nsereko zataddemu.
Share.

Leave A Reply