Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 173 listening Simba FM Live
News

Kkooti egobye okusaba kwa Besigye ne Lutale okwokweyimirirwa

August 8, 2025 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Emmanuel Baguma agaanye okusaba kwa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya okwokweyimirirwa kwebaali bateekayo nga bagamba nti balina okuyimbulwa okusinziira ku kawaayiro ka ssemateeka wabula Omulamuzi akiwakanyizza nti bano babadde tebanaweza naku 180 ku alimanda nga tebanasindikibwa ku mu Kkooti Enkulu.
Omulamuzi awakanyizza ekya Bannamateeka ba Besigye ne Lutale ekyokutandika okubala enaku nga bazibala okuva nga 20-November-2024 lwebasooka okuggalirwa Kkooti y’Amaggye nagamba nti enaku balina kutandika kuzibala okuva nga 21–Feb-2025 lwebatwalibwa mu Kkooti y’Omulamuzi e Nakawa nebaggulwako omusango gwokulya mu Nsi yaabwe olukwe.

Omulamuzi ayongeddeko nti obujulizi bwalina bumusobozesa kubala obudde bwebamaze ku alimanda nga basindikiddwayo Kkooti esookerwako eye Nakawa nga kiraga nti basomerwa emisango nga 21-Feb nga tewali fayiro eraga byagenda mu maaso mu Kkooti y’Amaggye.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemwemmweffe