Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 600 listening Simba FM Live

Kkooti egobye ogwawabirwa Kyagulanyi ne banne mu NUP

September 15, 2020 · Mubiru Ali
Kkooti olwaleero egobye Omusango ogubadde gwateekebwayo abantu babiri abagamba nti baali Bannakibiina kya National Unity, Reconciliation and Development Party kati ekyafuuka National Unity Platform nga bagamba nti ekibiina kino kyakyuusibwa erinnya nga tebabuuzizaako era nga bawakanya n’okulondebwa kw’abakulembeze baakyo abaggya okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
Bano baali baagala Kkooti eyimirize emirimu gyonna egy’ekibiina okutuusa lwebanasalawo eggoye.
Kkooti egamba nti okuyimiriza emirimu gy’ekibiina kijja kutaataganya emirimu gyonna era olw’okuba nti erinnya lyakyuusibwa dda tebakyasobola kuyimiriza kukyuuka kwa linnya wadde okubagaana okulikozesa.
Kkooti era egamba nti Kyagulanyi ne banne abalala abalondebwa ku bukulembeze kati balina ebifo eby’enjawulo n’emirimu gyebakola mu kibiina nga tekigasa kuddayo okumanya bwebalondebwa.