Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 519 listening Simba FM Live

Kkooti egobye Akena ku bwa Pulezidenti bwa UPC

September 8, 2020 · Mubiru Ali

Abalamuzi ba Kkooti ejjulirwamu okuli; Elizabeth Musoke, Christopher Madrama ne Irene Mulyagonja bavuddeyo nebasazaamu okulondebwa kwa James Akena nga Pulezidenti wa Uganda Peoples Congress – UPC era nabalagira ekibiina okutegeka okulonda okulala mu bwangu.
Abalamuzi bategeezezza nti ekibiina kyakusingala nga kibuusibwabuusibwa ebbanga lyekinaamala nga obukulembeze tebulondebwa okusinziira ku Ssemateeka waakyo.
Abalamuzi bagamba nti Akena abadde mu offiisi eno mu bukyamu oluvannyuma lw’okutuuza olukiiko lwabonna omwezi oguyise.