Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 250 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Kkooti egaanye omusomesa eyakwatibwa e Jinja ku nsonga y’ebisiyaga okweyimirirwa

April 22, 2023 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti y’e Jinja Agnes Musiime yataddewo olwa 4-May nga lwerunaku Kkooti lwegenda okutandika okuwulirako omusango oguvunaanibwa Omumyuuka w’Omukulu w’essomero lya PMM Girls’ SS Lydia Mukodha ne munne gwagambibwa okwegatta naye mu bikolwa ebyokuvuga empanka Martha Naigaga. Bano bakwatibwa nga 3-March oluvannyuma lw’abazadde okuvaayo nebalumba essomero ku bigambibwa nti bano baali bayigiriza abaana baabwe abawala abali mu ssomero lino okwegatta mu bikolwa byokwegatta mu ngere eyekiwunjukira.