Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,418 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kkooti egaanye okukwata okwemulugunya kwa Bobi Wine

January 30, 2021 · Mubiru Ali
Kkooti Ensukulumu olunaku olwaleero egaanyi okukwata okwemulugunya kwa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga awakanya okulangirirwa kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuwanguzi w’akalulu ka 2021 olunaku olwaleero ku lwomukaaga.
Bannamateeka ba Kyagulanyi aba Wameli and Company Advocates babadde bawandiikidde omuwandiisi wa Kkooti ensukulumu nga baagala baweeyo okwemulugunya kwabwe olunaku olwaleero January 30, 2021 okusobola okukwata enaku 15 eziweebwa eziggwako ku Sunday nga 31-Jan-2021.
Omwogezi w’essiga eddamuzi, Jameson Karemani akakasizza okufuna okusaba kuno nategeeza nti wabula babawabudde bakuweeyo ku Monday. Wabula ebiwandiikiddwa ku Chief Justice Alfonse Owiny-Dollo nga biteekeddwa ku notice board alaga nti olunaku olusembayo okuwaayo okwemulugunya kukulonda lwa Sunday nga 31-Jan-2021, nabwekityo olunaku olunasembayo okuwaayo okwemulugunya lujja kubeera lwa Monday nga 1-Feb-2021.