Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 438 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Kkondo bamumizizza omusu e Mityana

February 9, 2017 · Mubiru Ali

Omusajja ateeberezebwa okuba kkondo asangiddwa ng’amenya olujji lw’ edduuka akubiddwa egimuserengesezza ekalannamo.

Musa Mutebi ow’emyaka 30 akwatiddwa lubona ng’amenya edduuka ly’omusuubuzi Joyce Matovu mu kabuga k’e Buswabulongo akali ku nkingiizi z’ekibuga Mityana mu Municipaali y’e Mityana.

Ekibinja ky’abatuuze kimuguddeko ekiyiifuyiifu nekimukuba mizibu era kati eyiye baavuunise dda.

Omwogezi wa Police mu bitundu bya Wamala, Afande Nobert Ochom agamba nti webatuukidde nga Mutebi mukalu wabula nga kati tebannabaako muntu yenna gwebakwata kulw’ekikolwa kino.

Omulambo gwa Mutebi Police eguggyewo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Mityana ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.