Kkansala n’abazadde basuze mu kaduukulu lwa kwekalakaasa – Luuka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abazadde abasoba mu munaana nga mwotwalidde ne Kkansala ku Disitulikiti y’e Luuka akiikirira eggombolola y’e Waibuga ekiro ekikeesezza leero bakimaze mu kaduukulu ka Police olw’ebigambibwa nti beekobaanye n’abayizi b’essomero lya St. Jude Namadope Primary School nebeekalakaasa nga baagala omukulu w’essomero eryo Paul Bagoole  akyusibwe mbagirawo.

Abazadde wamu n’abayizi b’essomero lino eggulo beegugunze nebasannyalaza emirimu ku ssomero nga bagumbye ku yafeessi y’omukulu w’essoro ng’eno bwebaleekaanira waggulu gattako n’okukuba engoma nga bagamba nti Bagoole alina okugenda. Bamuvunaana kukabasanya bayizi n’okuzza essomero lino emabega gattako n’okulyakula ssente za UPE.

Share.

Leave A Reply