Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,351 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kkansala asimattuse okugajambulwa abatuuze – Mukono

April 9, 2018 · Mubiru Ali

Kkansala akiikirira  eggombolola y’e Nama ku lukiiko lwa Disitulikiti  Kyowa Sylivia Kyobe awonedde watono  awaalema ekkere okubuuka okugajambulwa abatuuze ababadde bataamye obugo bwebabade mu lukiiko olutegekeddwa aba Uganda Atomic Energy Council okusomesa abatuuze ku project ya  Gavumenti egenda okuleetebwa mu kitundu kyabwe.

Abatuuze okutabukira kkansala ono kiddiridde okuyimuka okwogera n’awagira Project eno okuleetebewa mu kitundu kino nga ate bo bagamba nti yandiba eyobulabe eri obulamu bwabwe.

Atomic Energy ensangi zino y’eri ku mimwa gya Bannamukono nga kigambibwa mbu ligenda kuba Kkolero lya bbomu.

Olukiiko luno olwetabiddwamu omubaka akiikirira ekitundu kino mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Ronald Kibuule, ategeezezza nga bweyafuna okwemulugunya okuva mu batuuze bano era n’akutwalira Minisita “Energy”era nga kati alinda okuddibwamu ababuulire ekiddako.

Kibuule asimbidde ekkuuli Ppolojekiti  eno era n’asaba Gavumenti eginoonyeze ekifo ekitaliimu bantu.