Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kkansala mabuyiiridde Acid lwa mivuyo gya ttaka – Mbarara

November 9, 2017 · Mubiru Ali

Omujulizi omukulu mu nkaayana z’ettaka e Mbarara, Amos Katureebe era nga ye Kkansala wa Nyamitooma ku Munisipaali e Mbarala yalumbiddwa abantu abatannategeerekeka nebamuyiira ACID mu maaso, mu Ddwaliro e Mbarara bamulemeddwa, bamusindise Mulago  – Kampala

Amos yalumbiddwa mu  kiro ekikeesezza leero ku ssaawa nga bbiiri ez'ekiro mu katawuni akayitibwa Nyamityobora bweyabadde agenda uwuwe nga okumuyiira Acid yabadde atadde emmotoka ye ku ssundiro ly'amafuta eriyitbwa Bam ng'ayolekera maka ge wabula newabaawo omuntu amuyita era olwakyuse okutunulayo nebamuyiira Acid

Ensonda ez'esigika okuva mu kakiiko akanoonyereza ku mivuyi egiri mu ttaka, zitutegeezezza nti Amos abadde omu ku bajulizi abakulu mu nkaayana z'ettaka e Masaka .